Omuwala ow’emyaka 16 ng’atubidde n’abaana 3
Ku kyalo Kaligwa mu tawuni kanso y’e Mpigi gyetusanze omuwala ow’emyaka 16 ng’atubidde n’abaana 3 beyazadde nga tebannatuuka wiiki 2 emabega. Violah Nagadya maama w’abaana bano olw’okubulwa ensimbi ezibatwala mu ddwaliro okubateeka mu kyuma ky’abaana abatannatuuka oba Incubator baasalawo kubazinga mu ngoye nebateeka amazzi agookya mu budomola okusobola okubafuni ebbugumu. Kati ono asaba bazira kisa ku muyamba.