Abeegwanyiza okukwatira NUP bendera basindanye mukukubaganya ebirowoozo
Bannakibiina ki National Unity Platform abeegwanyiza okukwatira ekibiina kino bendera kukujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North mu Palamenti basindanye mukukubaganya ebirowoozo okw’olukale ku kitebe ky’ekibiina. Pulezidenti w’ekibiina kino Robert Kyagulanyi, awagidde enkola eno, n’akubiriza ebibiina ebirala ebiri mu by’obufuzi okugyikoppa basole okufuna abakulembeze ab’omugundu. Wabula okukubaganya ebirowoozo kuno kubadde kujuddemu katemba eri ababadde bavuganya abamu, obwedda abaddamu ebibuuzo ekifulanenge.