Ba siipika ba disitulikiti beekokkodde enkola ya gav't
Ba sipiika ba disitulikiti ez’enjawulo okwetoloola eggwanga baagala gavumenti ezze obuyinza bwa gavumenti ez’ebitundu okwesalirawo ensimbi ezirina okubaddizibwa kwezo ezisoloozeddwa mu bitundu byabwe. Bagamba basolooza ensimbi nyingi kyoka nebabaddizaako busamambiro ekizing’amya enkola y’emirimu mu disitulikiti zaabwe. Bano basisinkanye e Wakiso okukubaganya ebirowoozo n’ekigendererwa ky’okusalira amagezi ku bibasomooza nga sipiika wa palamenti Anita Among y’abadde omugenyi omukulu.