Abasiraamu e Nama batabukidde abakulembeze
Abasiraamu e Nama mu gombolola y’e Busimbi e Mityana batabukidde akulira etwale Shiekh Ali Batemyetto nga bamulanga kwagakla okwezza ettaka ly’obusiraamu. Bamulumiriza nga bwaliko ebintu byeyateeka ku ttaka lino nga teyebuuzizza ku basiraamu - bwetumubuuzizza eby’ogerwa bino abiwakanyizza nga agamba byakola bya buweereza bwa busiraamu.