Ssemakadde ne Owiny-dollo; balidde matereke ku mukolo gw’okuggulawo omwaka gw’ebyamateeka
Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo agamba nti ssiwaakukkiriza kibiina kyabannamateeka okuvvoola abalamuzi be. Ono asinzidde ku mukolo gw'okuggulawo omwaka gw'ebyamateeka omupya kwasabidde pulezidenti w'ekibiina kino Isaac Ssemakadde okwetonda olw'ebigambo ebivvoola Omulamuzi Musa Ssekaana. Kyokka Ssemakadde akombye kwerima ng'agamba nti ssiwakwetonda.