Enkalu ku ttaka; e Hoima waliwo abeekubudde enduulu
Wabaluseeko okusika mu baana bengoma e Bunyoro , nga kino kiddiridde abaana b’omulangira Herbert Kimera Rwakiswaza , okutandika okulwanira ettaka lya kitaabwe eriwezako yika 286. Abaana bano bagamba nti kitaabwe okuva lweyafa , baakamala emyaka 10 nga baneneng’ana ne baganda baabwe abazaalwa mu bakyala abalala beefunyiridde okweza ettaka lino bagobe ne nyaabwe Margret Kabateso Ndahura Kimera ow’emyaka 89. Kati baagala abakulu mu kitongole ekiramuzi kiyingire mu nsonga zino, kuba babuliddwa aw’okufuna obwenkanya.