NEMA ekoze ekikwekweto ku basima omusenyu mu nnyanja
NEMA nga kye kitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bwensi kyongedde amaanyi mu bikwekweto byakyo okufuuza abantu aboonoona obutonde nga bayita mu kusima omusenyu mu migga n’ennyanja. Bano olunaku lw’eggulo baakoze ebikwekweto mu disitulikiti ye Kayunga ne Buikwe gye baakwatidde abantu n’okubowa bye babadde bakozesa mu kusima omusenyu.