Ab'e Luweero bakukkulumidde NFA olw'okubasengula ku ttaka nga tebaliyiridde
Waliwo abatuuze mu maka 70 ku kyalo Yandwe mu gombolola y’e Butuntumula mu district y’e Luwero abakukulumira gavumenti wamu n’ekitongole ekivunanyizibwa ku bibira mu ggwanga ki NFA olw'okubasengula ku ttaka kwebaali bawangalidde emyaka n’ebisiibo nga tebaliyiridde.Abatuuze bagamba nti batandika okusenga ku ttaka lino mu myaka gya 1915, kyoka kibanakuwaza okuba nga abaali abatuuze bafuuka mmombozze.