Ab'e Nansana-Katooke bandifuna ku buwerero oluvannyuma lw'enteekateeka z'okukola oluguudo lwabwe
Abantu abawangaalira ku luguudo lwa Nansana - Wamala- Katooke bandifuna ku buwerero oluvannyuma lw'enteekateeka z'okukola oluguudo luno okuggwa. Abatuuze ku luguudo luno baludde nga balaajana olw'embeera gye lubaddemu nga bagamba nti kizizza ekitundu kyabwe emabega. Olwaleero omulimu guno gukwasiddwa contractor era nga awereddwa ebbanga lya mwezi gumu okulaba nga atandika okukola.