Aba division za Kampala bagaanye okuyisa embalirira ya KCCA
Abakulira eggombolola etaano ezikola ekibuga kampala beeweze obutayisa mbalirira ya kibuga ey'omwaka gw'ebyensimbi 2025/2026 okutuusa nga bawerewddwa obuyinza obwekolera ku bizibu ebinyiga ebitundu byabwe. Bagamba nti mu buli mbalirira bazze bateekamu ebintu bye baagala bikolebwe mu bitundu byabwe, kyoka byonna bisuulwa muguluka ku mutendera gw'okutekateeka embalirira. Bino babikanyirizaako mu lukiiko oluyitiddwa Loodi Meeya wa kampala Erias Lukwago,okulaba butya bwe bayinza okusalira ensonga eno amagezi.