Aba NUP abaawambibwa bakomyewo balojja bye baayitamu
Abakulembeze b’ekibiina ki National Unity Platform mu bendobendo lye Busoga balaze okutya olwa banaabwe okubuzibwangawo abantu be batategeera. Bano bagamba nti banaabwe abawerako bazze batwalibwa emmotoka ezaakazibwako elya Drone awatali na kusooka kubawa nsonga yonna. Bano poliisi ebabuulidde nti mpawo kye bamanyi ku bebalumiriza okuwamba abantu baabwe.