Abaasimattuka ekirwadde ki M-pox boogera obulumi bwe baayitamu
Webutuukidde olunaku olwaleero ng’abantu abasukka mu 5000 bebaakaloza ku bukambwe bw’ekirwadde ki Monkey Pox ekimanyiddwa nga MPOX ekyalumba Uganda mu mu gw’omusanvu omwaka oguwedde 2024. Abakwatibwa ku kirwadde kino batubuulidde obugubi, n’okuluma obujiji bwebaayitamu nga batawaana ne kirwadde kino ekyali kituuse okubatwala ezzira kumwa. Kyoka aba minisitule y’ebyobulamu batubuulidde nti obulwadde buno bukendende mu bantu bw’ogerageranya n'emyezi egyiyise.