Abaavuganya mu kalulu ka Kawempe ng'abaava ku biragiro by’ebibiina bubakeeredde
Oluvanyuma lw'akalulu k'e Kawempe North, abamu ku baasulawo ebibiina byabwe ne basalawo okuvuganya ku bwannamunigina bagamba beetegefu okuddayo mu bibiina byabwe basobole okwetekerateekera akalulu k'awamu mu mwaka 2026. Kyokka ebibiina okuli NRM ne NUP, bibataddeko obukwakkulizo, nga waliwo n'omwaganya gw'obutabakkiriza kuddamu kubeegattako.