Ababaka ba palamenti bakalaatiddwa ku neeyisa
Ssaabalabirizi w’e Kkanisa ya Uganda, Stephen Kazimba Mugalu asabye bannabyabufuzi okukozesa obudde buno obw'ekisiibo, okwennenya n'okuddiramu abo bwebatakkiriziganya mu ndowooza za byabufuzi, naddala mu kaseera kano ng'oluwonko wakati gwavumenti n'abagivuganya lwongera okugaziwa.Okwogera bino Kazimba abadde akulembeddemu okusaba okw'okuggulawo ekisiibo ku Palamenti olunaku olwaleero