Ababaka baagala okunnyonnyolwa aduumira akabinja ka JAT
Amyuka Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba wandibaawo ab'ebyokwerinda abakola ebikolobero n'ekigendererwa eky'okuttattana ekifananyi Kya gavumenti.Tayebwa bino abyogeredde mu Lutuula lwa palamenti lw'akubirizza olunaku olwaleero, era nga abadde ayanukula ku kwemulugunya kw'ababaka ku ngeri ab'ebyokwerinda gyebaakuttemu bannaKibiina ki NUP olunaku lw'eggulo.