Abafuna akawuka ka mukenenya beeyongedde mu Uganda
Mu mwaka gwa 2021 Uganda yali emu ku mawanga ageegattira mu kitongole ky'amawanga amagatte agakkaanya okussaawo kaweefube okulaba nga 2025 wanaatuukira nga abantu waakiri ebitundu 95 ku kikumi abalina mukenenya bamanyi bwe bayimiridde okuyita mu kwekebeza, nga bali kuddagala era nga emibiri gyabwe gisobodde okunafuya akawuka.Ekiruubirirwa kino kyatuumibwa 95-95-95 Wabula kino ssikyakutuukirira olw'emiziziko egyenjawulo omuli n'ebbula ly'ebyensimbi