Abakristu batandise ekisiibo kya nnaku 40
Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala Paul Ssemwogerere asabye abakrisitu okusabira abakulembeze basobole okukola amateeka agagasa eggwanga so si ago ag'okwefaako bokka.Ssaabasumba okwogera bino abadde akulembedemu ekitambiro kya missa etandika ekisiibo eky’ennaku amakumi ana n’akabonero ak’okusiigibwa vvu.