Abakulembeze ba NUP bagaaniddwa okulaba Dr. Besigye
Ekitongole kyamakomera kigaanye akulira ekibiina ki National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu, n'abakulembeze abalala okulambula ku Dr Kiiza Besigye mu Kkomera gyakumirwa e Luzira nga bagamba nti mugonvu teyandyagadde mugenyi yenna. Kubano kubaddeko eyakulirako oludda oluvuganya Winnie Kiiza n'eyaliko omubaka Alice Alaso, kyoka ab'obuyinza tebabaganyizza kumulabako. Basinzidde wano okulabula gavumenti okwanguwa okuyimbula Dr Besigye agende afune obujanjabi nga kikyasoboka.