Abakulembeze bogedde lwaki obuzzi bw’emisango e Luwero bweyongedde
Abakulembeze mu district y’e Luweero bakitadde ku Poliisi nti y’evuddeko obumenyi bw’amateeka obumu okweyongera mu district eno naddala okutwalira amateeka mu ngalo.Alipoota ku buzzi bw’emisango ey’omwaka oguwedde eraga nti abantu 22 bebatibwa mu Luwero ng’abantu batwalira amateeka mu ngalo era district eno yasiinze mu ggwanga lyonna mu misango gino. N’omwaka gwa 2023 era Luwero y’eyasinga mu kisango gino ng’abantu 35 bebatibwa mu mbeera eno.