Abalirwanirira eddembe ly’obuntu bagamba JAT esusse we yandikomye
Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu basoomoozezza gavumenti okuvaayo ekangavvule abasirikale b’akabinja ka JAT saako n’ab'ebyokwerinda abalala abalabiddwako olunaku lw’eggulo nga bakuba abantu mu kunoonya akalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North bweba tewagira bikolwa bino eby’okutulugunya abantu baabulijjo.Okusinziira Dr. Livingstone Ssewanyana akulira ekibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu ki Foundation For Human Rights Initiative ebikolwa by’akabinja kano tebikwatagana na mutindo gwa pollisi ya Uganda oba amajje wabula kabinja k’abantu abantu abalowooza nti bali waggulu waggulu w’amateeka.