Abaserikale abaakoseddwa omuyaga gw’e Kalangala basobeddwa
Abaserikale abaabade basula ku polisi ye Kalangala eyamenyeddwa omuyaga ogumanyiddwa nga ensoke sabiiti ewedde, bangi tebanafuna wakusula, newankubadde olunaku lw'eggulo poliisi eriko beyaduukiridde ne bu weema obutono. Tukitegedde nti bangi ku bano nakati basula bweru ku lubalaza lwa poliisi enkulu e Kalangala nga abalala basula ku mirirano ewatali kyakulya yadde. Wofiisi ya ssaabaminisita bano esuubiza okubaduukirira mu bbanga tono okuva leero.