Abatuuze baliko bye basabye kkooti mu musango ogw’awaabwa NEMA
Abatuuze ekitongole ki NEMA bekyalaalika okusengula ku byalo bisatu okuli Busabala, Bugu ne Kibiri ,baagala kkooti erindeko okuwa ensala yaayo ku musango gwe baawawabira NEMA ogw'okwagala okubasengula mu bukyamu. Okusinziira ku ludda oluwaabi, kkooti eyina okusooka okuwulira okusaba kwabwe kwebaatadde mu kkooti nga baagala minisita avunanyizibwa ku butonde n'amazzi n'omuwolereza wa gavumenti bavunaanibwe wamu ne NEMA mu musango. Bano leero babadde basuubira ensala ya kooti ku musango guno, kyoka omulamuzi aguli mu mitambo Douglaus Ssingiza ababuulidde nti ensala wakugiweerereza mu bubaka bw'okumitimbagano.