Abatuuze balumiriza amagye okukyenyigira mu kibba ttaka e Ntebe
Abamu ku batuuze mu bitundu by’e Ntebe bali mu kwekokkola olw’abantu abamu abeeyambisa amagye naddala agakuuma omukulembeze w’eggwanga okubatwalako ettaka ku kifuba. Bano bagamba nti ne bwe beekubira enduulu ku Poliisi tebayambibwa nga n’oluusi bafundikira be bagguddwako emisango .