Abavubuka ba NRM mu Ibanda beekyaye lwa butaasasulwa kasiimo kakunoonya kalulu
Nga NRM yeetegekera akalulu ka 2026 ate waliwo abavubuka mu Disitulikiti y’e Ibanda abavuddeyo okwemulugunya olw’obutaweebwa kasiimo ngate baakola nnyo mu kuwenjeza ekibiina obuwagizi. Kyokka bano ekibiina kibasabye okuyisa okwemulugunya kwabwe mu mitendera emituufu.