Abayizi badduse mu ssomero e Bulambuli olw’okutya enjatika
Abayizi n’abakulira essomero lya Bugibologoto Primary School mu ggombolola y’e Simu mu district y’e Bulambuli bali mu kutya nti olw’enjatika ezizze mu bizimbe by’essomero olw’okubumbulukuka kw’ettaka ne nnamutikkwa w’enkuba afudemba. We twogerera ku baize 600 ab’essomero lino musigaddemu abayizi 259 bokka nga abalala tebakyasoma olw’okutya ebiyinza okuddirira. Ku bayizi ba P7 abawera 33 abeewandiisa okukola ebibuuzo bya PLE, abayizi 20 bokka be basoma.