Abe Kalungu bakaluubirirwa mu by’entambula lwa lutindo kusaanyizibwawo
N’egyebuli eno, Abatuuze abawangaalira mu ggombolola ye Lwabenge e Kalungu bakyakaaluubirizibwa okusala okudda mu disitulikiti ye Gomba oluvannyuma lw’olutindo olwali lugatta disitulikiti z’ombi okusaanyizibwawo mu mwaka gwa 2023.Olutindo luno lwatwalibwa mu kiseera ky’ekimu n’olutindo lw’e Katonga we lwabomolwa amazzi g’omugga Katonga wabula nga luno gavumenti tennakukolako.Nga bwe gwali lwe twasemba okugenda mu kitundu kino, abatuuze beeyambisa maato okusomoka okudda mu kitundu ekirala.