Akabenje k’eryato: Ababadde batasiibwa babbidde
Abantu abatanategeerekeka bungi balowoozebwa okuba nga bafiiridde mu kabenje k'eryato akaguddeko emisana ga leero amagye bwe gabadde gagezaako okutaasa abantu ababadde bawagamidde mu taxi ebadde etwalibwa amataba. Bino bibadde ku luguudo oluva e Packwach okudda e Nwoya era nga n'omugga Kiyira weguyitira. Abantu basatu okubadde Abakazi babiri ng'omu munaddiini oba sisiter n'omwana bebatasiiddwako.