Akakiiko ke by'okulonda kalekeddaawo enteekateeka z'okwetegereza enkalala z'abalonzi
Akakiiko ke by'okulonda katubuulidde nti tekalina nteekateeka zonna ezongezaayo ennaku ez'okwetegereza enkalala z'abalonzi, nga kino kiddiridde ne nnaku omusanvi ze baali bongeddemu okugwako leero. Ebitundu ebimu byetutuseemu tusanze abantu bajjumbidde okwekebejja enkalala , songa yyo e Masaka abatuuze ku byalo bisatu bali mu kutya nti bandisubwa okulonda anti ekifo we babade balondera kakyusiddwa ate nga obudde bubaweddeko nabo okukyusa amanya gaabwe. Kyoka ayogerera akakiiko ke byokulonda Julius Mucunguzi agambye nti newankubadde waliwo ebirumira, eky'okwongerawo akadde kiyinza obutasoboka.