Amazaalibwa ga Kabaka: Lutikko y’e Lubaga ekubyeko mu kusaba okwenjawulo okwokwebaza
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza abantu ba Kabaka bazze abawagira enteekateeka zona ez’obwakabaka n’okusabiranga Maasomooji entakera. Bino bibadde mukusaba okw’okwebaza Katonda olw’okumusobozesa okuwangaala emyaka 70 nga bwalamula ensi ye Buganda. Okusaba kuno kwetabiddwako abakulembeze mu biti eby’enjawulo okuli ne banna byabufuzi ab’amannya nga bakulembeddwamu pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu, Olulyo olulangira saako n’abantu baabulijjo ku mutendera ogwa kinnoomu.