AMIR WASSWA SSALI: Ali mu kutendekebwa okw’amaanyi
Amir Wasswa Ssali eyawangula omudaali gwa ffeeza mu mpaka z'ebikonde ez'olukalu lwa Africa mu buzito bwa light weight nga ze Kilo 61 ali mu kutendekebwa okwamaanyi yadde nga tagenda kwetaba mu mpaka za Olyimpics w'omwaka ogujja. Obuzito bwa Lightweight tebuli ku lukalala mu mpka zino wabula nga Ssali agamba nti alina okuba omwetegefu singa afuna omukisa gw'okwetaba mu mpaka ez'omutindo gw'ensi yonna ez’engeri yonna.