BA MEEYA B’OBUBUGA OBUTONO : Waliwo abasisinkanye Mpuuga, beemulugunyizza ku musolo
Abamu ku ba Meeya b'obubuga obutono oba Town Council beekubidde enduulu eri akulira oludda oluvuganya gavumenti Mathias Mpuuga ku kyaminisitule y'ebyensimbi okubajjako omusolo gwona gwebakunganya. Nga bakulembeddwamu Meeya wa Katabi Town Council Ronald Kalema, ba Meeya bagamba nti minisitule y'ebyensimbi bwebajjako ensimbi zino, erwawo okuzikomwawo, ate nga n'oluusi ezizza nga teziwera ekikosezza obuwereza.