Ba nna NUP abakyali mu kkomera ;Bannaabwe baagala nabo bayimbulwe
Abavubuka bannakibiina ki Natinal Unity Platform naddala abaayitako mu tendekero ly’ekibiina kyabwe li NUP School Of Leadership baagala gavumenti eyanguwe okuyimbula banaabwe omwenda abakyali mu makomera, nga bawerennemba n’emisangpo egyekuusa ku kusangibwa nebyokulwanyisa egy’abaggulwako kyenkana emyaka ena egyakayita. Banaabwe bebanja beebamu ku 19 abaayimbulwe gyebuvuddeko oluvanyuma lw’okukkiriza emisango gyino,era omukulembeze we ggwanga nabawa ekisonyiwo. Kati bano bagamba nti banaabwe balangibwa bwemage, kale nga baagala bateebwe beyagalire mu ddembe lyabwe.