Baabano abasajja, bakazi baabwe be bakuba emiggo
Waliwo abasajja bangi abatulugunyizibwa bakyala baabwe mu maka wabula ne basalawo okusirika olwobutaba nabuddukiro. Twakyaddeko mu disitulikiti ye Kibuku ne tukizuula nti eno abakyala bakakana kubaami babwe nebabaligita emiggo ne babatuusaako obuvune, abamu ne batuuka n’okudduka ku kyalo olwokutya okuswala. Obutabanguko kiko kino tukizudde nga bwekuusa ku byanfuna ebinafu mu bassaja.