Bamuzibe bakaaba buseere bwa Bayibuli, buli emu egula obukadde bubiri
Abantu abalina obuzibu mu kulaba baagala bayambibweko mu kufuna biyibuli ze bakwatako nga basoma , baleme okusigalira e mabega mu kadde ak'okusinza. Bagamba nti bangi ku bbo bafuna banaabwe okubasomera , kyoka nga bandyagadde okwesalirawo eky'okusoma. Kati aba Bible Society babakanye n’omulumu ogw'okukunga abazira kisa bayembeko mu kusondera abantu abali mu ttuluba lino ensimbi basoble okufuna biyibuli zaabwe.