Bannamateeka bavumiridde eby’okuddamu okukwata Omubaka Akamba
Ab'ekibiina ekitaba bannamateeka mu ggwanga ki Uganda Law Society bavumiridde engeri omubaka wa Busiki Paul Akamba gye yazzeemu okukwatibwa ab'ebyokwerinda nga kkooti kyejje emukkirize okweyimirirwa ku kakalu kaayo olunaku lw'eggulo. Akulira ekibiina kino Bernard Oundo ekyakoleddwa ab'ebyokwerinda akiyisie kulinnyirira ddembe ly'omubaka ono erimuwa ekyanya okweyimirirwa.