Be baalambidde amayumba e Bwaise beekubidde enduulu, Lukwago abawadde esuubi
Loodi meeya wa kampala Erias Lukwago asuubizza okwogereganya n'abekitongole ky'ebyobutonde ki NEMA ku nsonga z'abatuuze be Bwaise abalumiriza nti ennyumba zaabwe ezaalambibwa okumenyebwa teziri mu ntobazzi. Lukwago leero asisinkanye abantu mu kitundu kino ne bamulambuza ennyumba ezoogerwako era n'ebabaako n'obukakafu bwe bamulaze obulaga nti ddala tebali mu ntobazzi.