Be baamenyera amayumba, laba engeri abali mu lubigi gye basulamu
Abantu abakyali mu Lubigi ab'ekitongole kya NEMA webaasenda amayumba bwe bakutendera byebayita mu kiro, tolemwa kwewunya. Abakyalemeddewo bagamba bakyalinda bwenkanya omuli okuliyirirwa olw'amayumba n'ebintu ebyayonoonebwa. Twatuuseeko mu kifo kino nga buwungedde ne batunyumiza okusoomoza kwebayitamu mu kiro.