E Karamoja wakyaliwo okusomooza olw’ebbula ly’emmere
Ebbulya ly’emmere kukyaali kusomooza kunene mu bitindu by’e Karamoja ekiviirako abantu okukonziba naddala abaana.Okumala ekiseera abasawo mu malwaliro babadde bakozesa eddagala eriyitibwa Ready-to-Use Therapeutic Food (RUTF) nga lino liriinga mmere erimu ebiriisa lyebawa abaana abakonziye nebawona.Wabula eddagala lino gyebuvuddeko ly’afuuka ekiro eky’entiisa mu bantu b’e Karamoja oluvanyuma lw’abaana abaalilya okutandika okutanaka nokufuna e mbiro ekyavirako ministry y’ebyobulamu okusooka okuliwera.