E Kyamuswa baakukola enguudo eziwera kilomita 18
Enteekateeka y’okukola enguudo ku kizinga kye Kyamuswa eyongeddwamu amaanyi gavumenti ng’eyita mu minisitule yaayo eyebyenguudo bwewaddeyo ebyuma ebirima enguudo. Ebyuma bino byakweyambisibwa mu kukola enguudo eziweza kilomita 18 ku kizinga kino. Abakulembeze ba disitulikiti ye Kalangala kati bagala government ezzeewo ekidyeri ekyatukanga ku bizinga ebyenjawulo okuli n’ekye Kyamuswa ekyggyibwawo emyaka 30 egiyise.