E Mubende, waliwo essomero erisemberedde okukuba abatuuze, olw’ebizimbe ebikutte mu mbinabina
Mu gombolola ye Nabingola mu disitulikiti ye Mubende waliwo essomero li St. Kizito Primary School erisemberedde okukuba abatuuze, olw’ebizimbe ebikutte mu mbinabina. Esomero lino lyatandika mu mwaka 1958, kyoka nga okuva olwo ebizimbe tebikyusibwanga. Kati abazadde batya nti singa enkuba etonya mu bungi ebizimbe bino byakukuba abayizi.