Ebibiina by'obufuzi bivumiridde ekya Besigye okulemezebwa mu kkomera
Abakulembeze b'ebibiina ebiri ku ludda oluvuganya bawadde gavumenti nsalesale ya nnaku bbiri okuyimbula Dr Kizza Besigye n'abasibe abalala abasindikibwa Kkooti y'amagye ku alimanda mu makomera ag'enjawulo. Bino bibadde mu nsisinkano abakulembeze b'ebibiina okuli NUP, ANT, UPC, n'ebibiina ebirala etudde ku kitebe ky'ekibiina ki National Unity Platform.