EBIGEZO BYA PLE: Abalondoola ebyenjigiriza bakubye ttooki mu byavuddemu
Ebyavudde mu bigezo by’ekibiina eky’omusanvu ebyafulumiziddwa eggulo byalaze nga abayizi abafunye obubonero obuna oba aggregates 4 bakenderedde bwogerageranya ne myaka egiyise. Abaana 448 okwetoolola eggwanga bebaafunye obubonero obuna, nga ku bano, Kampala yabadde nabaana 66 bokka, ekintu ekileeseewo okwelariikirira mu bazadde n'abasomesa abakwatibwako.