Ebitongole ebyasattuluddwa: abakozi baabyo sibakugobwa
Ministry yebyobulimu egumiza abakozi mubitongole ebina ebyasattuluddwa nti bakusigala nga bakola emiolimu wansi wayo awatali kugobwa. Ateekerateekera Minisitule eno Rtd. Maj, Gen David Kasura, agamba nti bano balina okuddamu ne bayisibwa mu kakunguunta k'okubuuzibwa okumanya ng'obuvunaanyizibwa banaabusobola. Olwaleero ebitongole bina omuli ekyamata ki DDA, ekyemmwanyi ki UCDA, ekya Pamba sako e NAADs bizzizzaayo obuyinza eri ministule eno ku kitebe kyayo e Ntebe.