Ebizibu bya Besigye: Dr. Gukina agamba yeyabyeretera
Abamu kubatunulira eby'obufuzi nabagoberera ensonga ezigenda mumaso mu gwanga bagamba nti Dr Kizza Besigye by'ayitamu alinga ye kennyini eyabyetekateekera mu biseera biri nga akyakolera gavumenti. Dr. Peter Musoke Gukyina nga muguku mu by'amateeka n'ebyobufuzi atubuulidde nti Besigye ono nga y'akyakwanaganya eby'obufuzi mu ggye li UPDF, tabala bbaluwa mekka ze yamuwandiikira nga amulabula n'okumujjukiza engeri enfuga y'amateeka gy'ekolamu wabula ye nebanne nebabiziimuula. Ono agamba nti teyewuunya okuba nga Besigye ali mu mbeera gy'alimu kubanga yalina omukisa ogufuluma gavumenti nga byonna abiterezeezza.