EBY’OBUGAGGA EBIRALA BIZUULIDDWA: Minisita Nankabirwa ayogedde ebitundu gye bifumbekedde
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’obugagga eby’omu ttaka n’okubikulaakulanya kikoze okunoonyereza ne kizuula eby’obugagga ebirala eby’omu ttaka mu bitundu eby’enjawulo era ne kisobola n’okumanya obungi bwabyo.
Muno mulimu ekyobugagga minisita ky’agamba nti kibadde kimanyiddwa nti mu nsi yonna kiri mu China yokka wabula kati ne mu Uganda mwekiri. Ministry eno egenderera okwanguyiza abasigansimbi obutamala budde nga banoonya ew’okuteeka ensimbi mu kukulaakulanya eggwanga. Kati gavumenti yaakweyambisa etteeka erirungamya ensima y’ebyobugagga ebirala eby’omu ttaka ebitali mafuta eryayisibwa omwaka oguwedde okulambika ensima y’ebyobugagga bino.