EBY’OKUKUBA ‘PRETTY NICOLE: ’‘Kafuta Queen’ kkooti emugguddeko gwa kutulugunya
Kafuta Queen, omu kubawala eyalabikira mu katambi nga bakuba munaabwe eyategerekako nga Pretty Nicole nga bamutebereza okuganza bbawe alabiseeko mu kkooti y'omulamuzi w’eddaala erisooka e Kira.Wakati mu kkooti kumpi ebadde ekubyeko ,ono asomeddwa omusango ng’okutulugunya omuntu.Omulamuzi w’eddaala erisooka e Kira Easter Nyadoi ono tamukkiriza kubaako kyayogera bwategezeza ng’omusango gwe bwegulina okuwulirwa omulamuzi ku ddaala eriddako Ono amuisindise ku alimanda mu Kkomera e Luzira okutuusa nga 31 omwezi guno.Nga kkooti tenatandika, Kafuta Queen yetondende Nicole olw’ekikolwa ekyamutuusibwaako.