Ebya poliisi okubaako by’ezuulayo ku wofiisi za NUP babyegaanye
Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi avumiridde ebitongole by'ebyokwerinda olw'okulumba wofiisi zaabwe ezze Kamwokya ne Kavule nebonoona ebintu eby’enjawulo n'okubulawo n'ebimu. Bano ne kati begaana ebyayogerwa poliisi nti waliwo ebintu ebimenya amateeka ebyasangibwa mu bifo bino.Nti kati baakuwaaba omusango gw'obunyazi kubanga n'abaababba bakimanyi nti ba byakwerinda nga baagala bakangavvulwe.