Ekifo awalabirirwa abaana ekye Kiryandongo gav’t egenda kukiggala
Gavumenti etubuulidde nga bwegenda okuggala ekifo awalabirirwa abaana ki Restoration Gateway ekisangibwa mu disitulikiti ye Kiryandongo.Okusinziira ku Minisita w'abavubuka n'abaana Balaam Barugahara ekifo kino tekikyasobola kulabirira baana oluvannyuma lw'omutandisi waakyo okukyabulira .Balaam agamba nti abaana baakusindikibwa mu bifo ebirala ebirabirira abaana .