Embalirira ya poliisi eya 2025-26 esaliddwako obuwumbi 32, abakulu beeraliikirivu
Abakulu mu Poliisi balaze obweraliikirivu olw'embaliira yaabwe ey'omwaka gw'eby’ensimbi ogujja 2025/2026 okusalibwa, ngate emirimu gyabwe gigenda kweyongera olw'akalulu ka bonna aka 2026. Bano bategeezezza nti mu bye beetaaga okukola mwemuli n'okuwandiisi abasirikale abekiseera abagena okukuuma akalulu abayitibwa ba Pollising Constaables abawera emitwalo etaano ng'enteekateeka eno yeetaagisa obuwumbi 18 ezitateereddwa mu mbalirira .Olwaleero bano balabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola ebyokwerinda n'ensonga z'omunda mu ggwanga okunnyonyola embalairira yaabwe eyomwaka gw'ebyensimbi ogujja .