EMPEEREZA YA GAV’T Z’EBITUNDU: Gav't esabiddwa okukyusa mu ngabanya y’ensimbi
Ebizibu ebitaawanya Kampala tebyawukana nnyo na bitawaanya gavumenti ez'ebitundu mu disitulikiti endala okwetoloola eggwanga Kati abaddukanya gavumenti ezebitundu ebyenjawulo wamu ne Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago baagala wabeewo enkyukakyuka mu ngabanya y’ensimbi ezikugaanyizibwa nabo basobole okukola ku bizibu ebiruma abantu mu bitundu bye batwala Mu kiseera kino bano bagamba nti gavumenti ebadizza busamaambiro obutasobola kweyambisibwa kutuusa buweereza eri bantu baabwe.